Nahum 2

Okugwa kwa Nineeve

1 aNineeve, olumbiddwa omulabe;
kuuma ekigo,
Kuuma ekkubo,
weesibire ddala onywere mu kiwato,
kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
2 bKubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,
kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,
newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,
ne boonoona emizabbibu gyabwe.

3 cEngabo z’eggye erikutabadde zonna myufu
n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.
Amagaali g’ebyuuma gamasamasa
ku lunaku lwe gategekebwa,
era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
4 dAmagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
gamyansa ng’eggulu.

5 eOmuduumizi bw’ayita abalwanyi be
bajja bagwirana.
Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga
we beetegekera okwerwanako.
6 fEnzigi ez’omugga zigguddwawo,
amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
7 gEtteeka lyayisibwa ku kibuga
nti kiriwaŋŋangusibwa,
abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,
nga bwe beekuba mu bifuba.
8Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba
eky’amazzi agakalira.
Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”
bo beeyongerayo bweyongezi.
9Ffeeza yaakyo temugirekaawo,
ne zaabu nayo mugitwalire ddala,
omunyago teguggwaayo,
eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
10 hEkibuga kisigadde kyangaala!
Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,
amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.

11 iEri ludda wa empuku y’empologoma,
ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,
empologoma ensajja, n’enkazi,
n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12 jEmpologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,
n’enkazi n’ezittira eyaazo,
n’ejjuza empuku n’omuyiggo,
ne mu bisulo ne mujjula ennyama.

13 k“Laba nze Mukama ow’Eggye
nkwolekedde,
era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,
n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.
Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,
n’eddoboozi ly’ababaka bo
teririddayo kuwulirwa.”
Copyright information for LugEEEE